Speaker Hazrat Khalifatul Masih V(aba) Mirza Masroor Ahmad (atba)

Empagi Ettaano Ez’obusiraamuOmwezi gwa Ramadhani n’okwanukulwa kw’essaala

Friday Sermon delivered by
Hazrat Khalifatul Masih V(aba)

Friday Sermon delivered at Masjid Mubarak, Islamabad, Tilford, UK on 29th March, 2024

Khutubah Ya Hadhrat Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihila-Aziiz) Gye Yawa Nga 29/Ogw’okusatu-Mugulansigo/2024 Mu Masjid Mubarak, Islamabad Mu Kibuga Tilford Mu Ggwanga Lya Bungereza

Oluvannyuma lw’okusoma Tashahhud, Ta’awwudhu ne Suurat-Al-Faatihah, Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano – Hadhrat Mirza Masroor Ahmad (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yatandika Khutubah ye ng’asoma olunyiriri lwa Kur’ani Entukuvu olugamba nti:

“Era abaweereza bange bwe bakubuuzanga ebinfaako, kale ddala Nze ndi kumpi nnyo. Nze nnyanukula okulaajana kw’omulaajanyi ng’andaajanidde: Kale bannyanukule era bakkiririze mu Nze, balyooke balung’ame.”

(Kur’ani Entukuvu: Essuula ya 2:187 Ng’ogasseeko Basmalah).

Enkwatagana wakati w’omwezi gwa Ramadhani n’okwanukulwa kw’essaala

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, Katonda yayunga olunyiriri luno ku nnyiriri z’Okusiiba Omwezi gwa Ramadhani. Kino kiraga nti, okusaba kulina enkwatagana n’Omwezi gwa Ramadhani n’Ekisiibo, era nga y’ensonga lwaki okusaala Esswalah ez’essalira, Sswalah ez’ekyeyagalire, n’ebika by’esswalah ebirala, bissibwako nnyo omulaka mu mwezi guno. Buli Musiraamu akimanyi nti, mu mwezi guno, Katonda agonnomola emikisa Gye ku baddu Be okusinga ne bw’atera okukola mu mbeera eza bulijjo.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasril-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, Omutukuvu Nnabbi Muhammad (Swallallaahu Alaihi Wasallama) yagamba nti, Katonda akolagana n’abaddu Be okusinziira ku ngeri gye bamulowoozaako. Omuntu bw’ajjukira Katonda, ne Katonda abeera wamu naye, ate bw’amujjukira mu mwoyo, ne Katonda amujjukira mu mwoyo, ate omuntu bw’amujjukira mu lukung’aana, ne Katonda ajjukira omuntu oyo mu lukung’aana. Ate omuntu bw’asembera eri Katonda oluta lumu, olwo ne Katonda asembera gy’ali ekipimo kya mukono mulamba, ate bw’asembera eri Katonda ekipimo eky’omukono, Katonda asembera gy’ali ekipimo kya mikono ebiri. Ate omuntu bw’agenda eri Katonda ng’atambula, ne Katonda agenda gy’ali ng’adduka.

Mu butuufu, eno y’engeri Katonda gy’akolagana n’abaddu Be mu mbeera eza bulijjo. Naye mu mwezi gwa Ramadhani, watondebwawo embeera ezisobozesa omuntu okussa ebirowoozo bye ku kujjukira Katonda. Kaakati tteebereza ebyengera Katonda by’ayinza okugonnomola mu mwezi guno! Kino ky’ekintu kye tutayinza na kutegeera mu bujjuvu.

Omugaso ogw’okukkakkanira mu Sswalah

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, kikwata ne ku bintu byonna ebikolebwa n’obukkakkamu bw’omutima ate omuntu n’asigala nga mukkakkamu mu ddiini. Mu ngeri eyo, awo Katonda adda eri omuddu We n’amulaga ekisa. Omutukuvu Nnabbi Muhammad (Swallallaahu Alaihi Wasallama) yagamba nti, Katonda tayagala kugobaganya muntu bw’aba ng’azze gy’ali ng’ayanjadde emikono gye. Eno y’embeera yennyini omuntu gyateekwa okugendamu eri Katonda. Obwesimbu bw’omutima bwetaaga omuntu okukola okwenenya okw’amazima.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, ebiseera ebimu wakati mu kupapa, abantu abamu bagamba nti, basadde sso ng’esswalah yaabwe tetuuse, kyokka ate tebasooka kwefumiitiriza ku mutindo gw’obwesimbu gwe babeera basabiddemu essaala era oba nga ddala babeera beeyongera obwesimbu mu nkolagana yaabwe ne Katonda n’obwerufu bwe babeera nabwo nga basaba Katonda okubasonyiwa ebibi byabwe, nga baluubirira okunyweza enkolagana wakati waabwe  ne Katonda nga batuukiriza amateeka Ge.

N’olw’ekyo, bwe tuba twagala okufuna ekisa kya Katonda eky’enjawulo, tuteekwa okutuukiriza amateeka Ge.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, Katonda wa kisa nti, atuwa omukisa buli mwaka okwetaba mu mwezi gwa Ramadhani, nti, ne bwe wabaawo obumulumulu okwetootoola omwaka, tusobola okukozesa omukisa guno okubumalawo, ne twenenya, era ne twezza buggya mu ngeri ey’enkomeredde. Guno mukisa gye tuli okufuuka abaweereza abatuufu aba Katonda, era tuweereddwa omukisa okukola kyonna ekisoboka okukituukako. Ku nkomerero ya byonna, bwe tukituukako, olwo Katonda atuwa amawulire ag’essanyu nti, tawulira buwulizi ssaala z’abantu ng’abo, wabula era abaanukula n’okubaanukula. N’olw’ekyo, essaala zaffe teziteekwa kukugirwa ku byetaago bya ssekinnoomu, wabula ziteekwa n’okwolekezebwa ku kussaawo enkolagana ennywevu n’okusemberera Katonda.

Okusoma obusomi essaala ku mimwa, tekimala

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, Katonda yagamba nti, okwolesa obwolesa omukwano tekuggya kutuusa muntu ku ddaala ery’okuyitibwa omuddu wa Katonda omutuufu, wabula kino kituukibwako oluvannyuma lw’okugoberera amateeka ga Katonda. Kinaatuukawo oluvannyuma lw’omuntu okuzimba omusingi gw’obukkiriza ogutayuuga.

N’olw’ekyo, n’abo abagamba nti, basaala Esswalah nnyingi naye tezibagasa, bateekwa okwekebejja oba nga basadde n’obwesimbu obw’enkomeredde ssinakindi oba nga boongedde okunyweza enkolagana wakati waabwe ne Katonda.

Abamu beeteerawo obukwakkulizo bw’essaala zaabwe nti, ebyetaago byabwe bwe bikolebwako, nga kitegeeza nti, essaala zaabwe zaanukuddwa. Ate ebyetaago byabwe bwe bitakolebwako, batandika okwemulugunya ku Sswalah zaabwe ssinakindi okwemulungunya ku Katonda. Naye zino ssi z’empisa z’omuddu wa Katonda omutuufu.

N’olw’ekyo, nga tetunneemulugunya ku Sswalah zaffe, tuteekwa okusooka okwebuuza oba nga ddala tutuukiriza amateeka ga Katonda ssinakindi okwekebejja omutindo gw’obukkiriza bwaffe mu Katonda.

Essaala entuufu etuukibwako entya

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) yalambulula omusomo gw’essaala, era nti, abaddu ba Katonda abatuufu be baani, era na ngeri ki Esswalah entuufu gy’eyinza okusaalibwamu?

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, aggya kulambika ebimu ku bigambo eby’Omulung’amya Eyalagaanyizibwa (Emirembe gibeere ku ye) bye yawandiika ku mulamwa guno.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) yannyonnyola nti, teri kubuusabuusa nti, Katonda awulira essaala, naye akakwakkulizo kali nti, omuntu ateekwa okuzimba omusingi gw’obutuukirivu, akkirize okubaawo kwa Katonda awatali kubuusabuusa kwonna era bw’atyo anyweze n’obukkiriza bwe mu nzikiriza egamba nti, Katonda alina obuyinza ku bintu byonna. Obukkiriza butuusa ku kukkiriza era kino kasita kituukibwako, omuntu aggya kulaba ebibala ebinaava mu ssaala ze. Tekiteekwa kuba nti, obukkiriza bw’omuntu buseebengerera mu kigezo ekitono ky’abeera agezeseddwa nakyo. Enkolagana wakati w’omuntu ne Katonda ateekwa okufaananako n’enkolagana ey’abaagalana ababiri. Zino z’embeera ezisookerwako era ezizimbibwako omusingi gw’okwanukula essaala.

Ow’ekitiibwa Khaliftul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebigambo ebirala eby’Omulung’amya Eyalagaanyizibwa (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, tuteekwa okwekulaakulanya mu butuukirivu Katonda atandike n’okwogera naffe. Era nga kino kiyinza kukolebwa oluvannyuma lw’okuzimba omusingi gw’obukkiriza n’okutya Katonda, okukkiririza mu kubeerawo kwa Katonda n’ebitalabika, n’okukkiriza nti, Katonda alina obuyinza ku bintu byonna.

Engeri ey’okufuna obukkiriza mu kubeerawo kwa Katonda

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebigambo ebirala ebya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, omuntu bw’abuuza engeri gye tuyinza okumanyaamu okubeerawo kwa Katonda, kaakati okwanukula kusangibwa mu lunyiriri, Katonda lw’agambiramu nti, Ali ku mpi. Mu kumukoowoola, tusobola okumuzuula nga tuyita mu maanyi Ge n’okwanukulwa kw’essaala zaffe z’atwanukula. Kubanga bakatonda ab’enzikiriza endala tebali kumpi, naye Katonda waffe ali kumpi.

N’olw’ekyo, omuntu bw’akoowoola Katonda era ayongera okumwagala. Kano mu butuufu kamu ku bubonero obw’okubeerawo kwa Katonda nti, atwanukula essaala zaffe.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebigambo ebirala ebya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, okulaba obubonero bwa Katonda, ebeera ngeri emu ey’okuzuulamu Katonda. Naye, ekiziyiza bwe kisigala wakati w’omuntu ne Katonda, tasobola kumuwulira wadde okulaba obubonero Bwe.

N’olw’ekyo, ekigonjoozi kiri nti, kwe kwongera okunyweza omukwano wakati we Naye waleme kubaawo kiziyiza kyonna era omuntu asobole okuwulira Katonda era alabe n’obubonero Bwe.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebigambo ebirala eby’Omulung’amya Eyalagaanyizibwa (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, omuntu okusobola okwongeza obukkiriza, ateekwa okusigala ng’ajjumbira Esswalah. Omuntu ng’ayita mu Sswalah, afuna enkyukakyuka mu bwennyini bwe n’emutuusa ku nkomerero ennungi.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, zino ssi ngero ez’edda, wabula era eby’okulabirako bino bisobola okussibwa mu nkola n’olunaku lwa Leero era waliyo n’eby’okulabirako eby’okwanukulwa kw’essaala n’olunaku lwa Leero.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, era atera okulambika eby’okulabirako eby’okwanukulwa kw’essaala abantu bye bamuweereza mu bubaka obw’enjawulo. Eky’okulabirako, akatabo akamawulire akamanyiddwa nga Review of Religions – Okwekenneenya Amadiini, kaategeka olukung’aana olumanyiddwa nga “God’s Summit” – Olukung’aana lwa Katonda.” Ku kubeerawo kwa Katonda abantu mwe baaweera obujulizi bwabwe obw’enjawulo ku kwanukulwa kw’essaala. Mu butuufu, kiri mu kwanukulwa kwa ssaala nti, n’abantu abanafu mu ddiini ne batandika okuwa obujulizi nti, Katonda ayolesa amaanyi Ge agatali ga bulijjo era abantu ne batandika okumuzuula era ne banyweza enkolagana wakati waabwe Naye.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebimu ku bigambo bya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, waliwo enjawulo wakati w’okusaala Esswalah ng’omuntu tamanyi Katonda n’Esswalah omuntu z’asaala ng’amaze okutegeera Katonda. Okusaala obusaazi Esswalah mu bwangu, tekisobola kugifuula ntuufu, wabula omuntu avumbula amaanyi agali mu Sswalah oluvannyuma lw’okuteekawo enkolagana wakati we ne Katonda. Kiri mu kuyita mu Sswalah olwo Katonda n’alyoka abeera okumpi n’omuntu ng’omwoyo gwe bwe gubeera okumpi naye.

Ebisaanyizo by’Esswalah

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebigambo ebirala eby’Omulung’amya Eyalagaanyizibwa (Emirembe gibeere ku ye) ng’annyonnyola nti, Esswalah entuufu ebeeramu omuntu okwewala n’okwesamba ebyambyone n’ebitasaana. Akabonero akalala ak’Esswalah entuufu okusaalibwa n’obwesimbu kwe kuba nti, omuntu teyeesabira bwesabizi byetaago bye, wabula era asaba n’okufuna obusobozi obumwongera enkolagana wakati we ne Katonda. Esswalah entuufu esaalibwa oluvannyuma lw’embeera y’okubuyaana okubuutikira omuntu n’atuuka n’okukaabira mu Sswalah. Naye era ne kino, kisobola okutuukibwako lwa kisa kya Katonda.

N’olw’ekyo, era kiba kikakata ku muntu okusaba okufuna obusobozi obusaala mu ngeri esingira ddala obutuufu.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’alambika ebimu ku bigambo bya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, ebisaanyizo ebituufu eby’Esswalah bituukibwako oluvannyuma lw’omutima okufumiitiriza ku bigambo olulimi bye lwogera. Okugolokoka ekiro omuntu n’alangirira mu maaso ga Katonda nti, omwoyo gwe guli mu buyinza Bwe n’okunoonya obutukuvu bw’omutima, olwo nno omutima gw’omuntu guyinza okuggulwawo, ekintu ekimuyamba ku nkomerero ya byonna okusaala Esswalah enneesimbu. Embeera y’okubuyaana efaanana bw’etyo kasita etondebwawo, n’amaziga ne gatandika okukulukuta, olwo nno, omuntu atandika okumatira nti, Essaala ze ziggya kwanukulwa. Abantu bagenda ne beeteerawo okumatira okutalina kakwate konna ku kwanukulwa kw’essaala mu bbaluwa zaabwe ze bampandiikira, nga basuubira okwanukulwa nga bwe babeera basabye, kyokka ate okusinziira ku magezi ga Katonda agataliiko kkomo, amala n’atondawo engeri ezisinga obulungi mu kwanukula essaala zaabwe.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebigambo ebirala ebya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, okufuna Essaala ezikkirizibwa n’okufuna enkolagana ennywevu ne Katonda, kyetaagisa okulafuubana n’amaanyi ag’omujjirano. Eky’okulabirako, abantu tebakoowa kutakabanira n’okukazanira ebiruubirirwa by’ensi, naye lwaki bakoowera mu kutakabana okuyimirizaawo Esswalah entuufu n’okusemberera Katonda?

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebigambo ebirala ebya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibere ku ye) ng’agamba nti, essaala ey’omugaso ennyo, y’essaala ey’okusangulwako ebibi, kubanga era ku nkomerero ya byonna, guno gwe mulandira gw’essaala zonna. Esswalah eno bw’ekkirizibwa era omuntu n’asumululwa okuva mu bibi by’ensi eno olwo afuuka mutukuvu mu maaso ga Katonda.

N’olw’ekyo, omuntu ateekwa okusigala ng’alafuubana okusaala Esswalah efaanana bw’eti okutuusa lw’afuna obukakafu nti, mutukuvu mu maaso ga Katonda. Kino bwe kibaawo, olwo Katonda amumalira ebyataago bye nga tasoose na kumusaba.

Lwaki omuntu yandisabye bwe kiba nti, buli kimu kyagerekebwa dda?

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’alambika ebigambo ebirala ebya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, omuntu yenna ayagala okubeera ne Katonda olwo nno ateekwa okusaala Esswalah. Naye lwaki okusaala Esswalah kwa mugaso bwe kiba nti, Katonda yamala dda okugera buli kimu era nti, amanyi bulungi ekigenda okubaawo?

Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) yannyonnyola n’agamba nti, Katonda okuba nti, amanyi ekigenda okubaawo tekitegeeza nti, talina buyinza bukikyusa. Era lwaki kiri nti, tunoonya eddagala erivumula omutwe ate nga tuba tumanyi bulungi nti, omutwe teguggya kuvaawo buvi gwokka? Ekituufu kiri nti, ebikolwa by’abantu nabyo bijulira ebiyinza okuddirira. Omuntu bw’alafuubana n’asaala, ne Katonda ayoleka ebiddirira.

N’olw’ekyo, Katonda olw’okumanya ekigenda okubaawo, tekitegeeza nti, tasobola kukikyusa oluvannyuma lw’essaala. Ne bwe kiba nti, essaala yennyini teyayanukulwa nga bwe yasabibwa, Katonda asigala agiwulidde era kisoboka n’okuba nti, eneeyanukulwa mu ngeri emu oba endala ssinakindi okufuuka omuwaatwa ogw’okusonyiyibwa kw’omuntu abeera agisabye, oba nti, okwanukulwa kwayo kuyinza okubeera wano ku nsi oba mu bulamu obw’Oluvannyuma. Naye obutasaalira ddala kireetera omutima okutalagga, era omuntu n’atandika okweyongera ewala n’ewala okuva ku Katonda, era ku nkomerero ya byonna n’aggweramu ddala obukkiriza.

Naye, omuntu ng’ayita mu kusaala, afuna obutukuvu, enkolagana ne Katonda, okwewala ebibi n’afuna n’amaanyi agakola ebirungi ebyesiimisa.

Okukunga essaala eri Abasiraamu Ab’Ahmadiyya mu ggwanga lya Yemeni ne Bufirisuuti

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayuyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) era yakubiriza abantu okusabirako abasibe Ab’Ahmadiyya mu ggwanga lya Yemeni, naddala omukyala eyasibwa mu ngeri enkambwe. Naye, eky’omukisa omulungi, agenze ayolesa obugumiikiriza n’emmizi. Tusaba Allah atondewo engeri ey’okusumululwa kwabwe era tusaba Allah aggyewo okwekengera okusensedde ebirowoozo by’abalabe baffe.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) era yagenda mu maaso n’akungira Abafirisuuti essaala. Mu ndabika, waliwo ebintu bingi ebigenze nga bikyukamukko, naye embeera zennyini zeeyongera kusajjuka. Ekiragiro ky’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kyayisibwa, naye ebibonyoobonyo bikyaliwo. Kino kiraga enkola y’abaana n’ebyana eri mu Kibiina ky’Amawanga g’Ebugwanjuba. Ssinga ebibonyoobonyo bino byennyini byakolebwa ku mawanga mikwano gyabwe, agatiitiibizibwa, bandyanguye okuteeka obulippo ku ggwanga ekkolobezi.

Naye, tewali bulippo bwatekebwa ku ggwanga lya Yisirayiri. Ekituufu kiri nti, gye buvuddeko, eggwanga lya Amerika, awatali kakwakkulizo konna lyayisa ssente obuwumbi bwa Ddoola ziyambe eggwanga lya Yisirayiri, kyokka ate ne liyisa obukadde bwa Ddoola butono nnyo buyambeko eggwanga lya Bufirisuuti nga kuliko n’okakwakkulizo nti, teriggya kulumba ggwanga lya Yisirayiri wadde okugenda ku kituuti kyonna eky’olukale okwogerera obubi eggwanga lya Yisirayiri. Kaakati ki ekiyinza okusuubirwa okuva mu bantu ng’abo?

Mu byonna, kye tuyinza okukola, kwe kusaba. Katonda Omugulumivu y’asobola okutaasa abatulugunyizibwa ku batulugunya. Era tusaba Allah atuwe obusobozi obusabira abatulugunyizibwa.

Allaahumma Amiina – Ayi Allah, tukusaba okkirize.

Leave a comment