Speaker Hazrat Khalifatul Masih V(aba) Mirza Masroor Ahmad (atba)

Enkuyanja Y’ebyengera By’omwezi Gwa Ramadhani

Friday Sermon delivered by
Hazrat Khalifatul Masih V(aba)

Friday Sermon delivered at Masjid Mubarak, Islamabad, Tilford, UK on 15 March, 2024

Khutubah Ya Hadhrat Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihila-Aziiz) Gye Yawa Nga 15/Ogw’okusatu-Mugulansigo/2024 Mu Masjid Mubarak, Islamabad Mu Kibuga Tilford Mu Ggwanga Lya Bungereza

OMULAMWA GWA KHUTUBAH: ENKUYANJA Y’EBYENGERA BY’OMWEZI GWA RAMADHANI

Oluvannyuma lw’okusoma Tashahhud, Ta’awwudhu ne Suurat-Al-Faatihah, Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano – Hadhrat Mirza Masroor Ahmad (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yatandika Khutubah ye ng’asoma olunyiriri lwa Kur’ani Entukuvu luno olugamba nti:

  1. “Abange mmwe abakkiriza, mulaalikiddwako okusiiba nga bwe kwalaalikibwa abo abaabakulembera, mulyooke muyige okwekuuma.
  2. Ennaku mbalirire. Kale oyo mu mmwe aliba omulwadde oba ng’ali mu lugendo, kale atuukirize omuwendo mu nnaku ez’oluvannyuma. Naye abo abandikusobodde mu kwewaliriza, engassi kuliisa munaku. Naye oyo akola ekirungi ku lw’obuwulize, ekyo ky’ekirungi ennyo gy’ali. Naye bwe musiiba, kiba kirungi nnyo gye muli, singa mubadde mumanyi.”

(Kur’ani Entukuvu: Essuula ya 2:184-185 Ng’ogasseeko Basmalah).

Okukungula ebyengera by’omwezi guno

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, ku lw’okusaasira kwa Allah Omugulumivu, Omwezi gwa Ramadhani gwatandise. Omutukuvu Nnabbi Muhammad (Swallallaahu Alaihi Wasallama) yagamba nti, omwezi guno gwa mikisa era gwe mwezi Allah gw’agonnomoleramu emikisa gye mu mwaka gwonna. Mu mwezi guno, Ssitaani akaligibwa ku njegere era Allah n’atuwa omwagaanya okusimattuka ekibatu kya Ssitaani, era nga ku lwa kino, waliwo ebigambo bisatu byokka ebisobola okunnyonnyola ekisa kino ekya Katonda. Bwe tusemberera Katonda, tusanga emiryango gy’ekisa Kye nga gigguddwa kyere.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, omwezi guno gwa njawulo, era nga gwateekebwawo olw’okukungula ebyengera bya Allah Omugulumivu. Bwe tuba tubadde n’obunafu mu kusinza Katonda, mu kusaala Esswalah eza kyeyagalire, okusoma Kur’ani Entukuvu, wamu n’okussa mu nkola ennono zino, kaakano omwezi guno gutuwa omwagaanya okussa omulaka ku kutuukiriza ebitukakatako n’ebikolwa eby’ekyeyagalire mu kusinza.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, enteekateeka zikolebwa ku mizikiti olw’okusomesa emisomo gya Kur’ani Entukuvu era enteekateeka ng’ezo zikolebwa ne ku MTA Terefayina.

N’olw’ekyo, tuteekwa okunoonya emiwaatwa egitusembeza okumpi ne Katonda era oluvannyuma ebikolwa bino tubifuule eby’enkalakkalira mu bulamu bwaffe tusobole okwongera okuganyulwa mu byengera bya Allah Omugulumivu. Katonda asanyuka nnyo ng’omuddu We asembedde gy’ali. Era kino kiwanuuzibwa mu Mboozi Entukuvu ez’Omutukuvu Nnabbi Muhammad (Swallallaahu Alaihi Wasallama) ng’Omubaka agamba nti, omuddu omubuze bw’aggya eri Katonda, Katonda awulira bulungi okukira ne ku maama azuula omwana we abadde amubuzeeko. Ate era Katonda bw’asanyukira omuddiu We, amugonnomolako ebyengera ebitabalika.

N’olw’ekyo, tunaaba bannamukisa ssinga tunaatwala omukisa gw’Omwezi gwa Ramadhani era mu butuufu tunaafuuka abantu abanaafuna ebyengera n’emikisa gya Allah Omugulumivu.

Okufuna ekinyusi ky’okusiiba n’okutangira obwennyini bwaffe Ssitaani

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, mu nnyiriri ezisomeddwa mu ntandikwa ya Khutubah, Katonda alambika amateeka agakwata ku Kisiibo. Tuli bannamukisa nti, nga tuyita mu Mutukuvu Nnabbi Muhammad (Swallallaahu Alaihi Wasallama), Katonda yatuwa ekitabo ekyo ekijjudde amagezi tubeere abantu abatambulira mu makubo agatutuusa ku mwanjo gwa Katonda.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, mu nnyiriri zino, ekintu kye tusookera ddala okusomesebwa, bwe bwetoowaze, kubanga Katonda agamba nti, bwe tusiiba, tuba tetukola kikolwa kya njawulo, wabula okusiiba kwalaalikibwa ne ku bantu abaatusookawo, newakubaddenga baasiibanga mu ngeri eyawukunamukko. Naye, ekiruubirirwa eky’enkomeredde eky’Okusiiba eri buli omu, kwe kutambulira mu butuukirivu. Mu bigambo ebirala, kwe kwewala ebibi n’okukola ebirungi. Tuteekwa okwewala ebibi ng’omujaasi bwe yeewogoma emabega w’engabo. Omujaasi teyeetaasa bwetaasa, wabula asigala alumba omulabe, era wakati mu kwang’anga Ssitaani, tusobola okumusaanyizaawo ddala. Eno y’engeri gye tuyinza okuganyulwa mu kinyusi kyennyini n’omugaso gw’Okusiiba. Awatali ekyo, Katonda agamba nti, omuntu okusigala ng’alumwa enjala, tekimuyamba, wabula ekiruubirirwa ekituufu eky’Okusiiba, kwe kunnyikiza Obutuukirivu.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, ekitundutundu ky’Abasiraamu ekisinga obunene, naddala abagagga, tebeerumya njala ne bwe babeera mu Mwezi gwa Ramadhani, olw’ensonga nti, beerondalonda nnyo mu bika by’emmere gye balya ku Ddaaku ne Ffutaali. Kyokka ate ekituufu kiri nti, waliwo abaavu abasanga obukaluubirivu mu kufuna kye balya ku Ddaaku ne Ffutaali. Naye ku nkomerero, Ekisiibo kyokka ekikkirizibwa mu maaso ga Allah, ky’ekyo ekikulaakulanya okusinza n’obukkiriza mu Katonda.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, mu Mwezi gwa Ramadhan okusingira ddala, abagagga bateekwa okufa ku baavu. Tebateekwa kuyita buyisi bagagga bannaabwe ku bijjulo bya Ffutaali, wabula bateekwa n’okuteekateeka ebijjulo bya Ffutaali z’abaavu. Mu butuufu, Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, tawagira bantu abatwala ebijjulo bya Ffutaali ng’embaga z’amajaguza. Ebijjulo bino, bivuddemu okuwaba n’okuzuula mu ddiini. Okwawukanako ne kw’ekyo, mu Mwezi gwa Ramadhani wateekwa okubaawo essira erissibwa ku kusinza n’okusoma Kur’ani Entukuvu wamu n’okussa amateeka gaayo mu nkola. Mu kifo ky’okukola bwe batyo, ate abantu bava ku mirimu ne badda ewaka ne bavulubanira ebijjulo bya Ffutaali ow’okudiibuuda. Ate era abo abasembeza abantu ku bijjulo nga bino, mu kifo ky’okussa omulaka ku kusoma Kur’ani Entukuvu ne Hadiisi z’Omutukuvu Nnabbi Muhammad (Swallallaahu Alaihi Wasallama) ate basigala beenyigira bwenyigizi mu kuteekateeka Ffutaali basobole okutenderezebwa nga bwe bategese Ffutaali awooma!

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, omuntu bw’aba ayagala okuganyulwa mu ngabo, ateekwa okusooka okumanya enkozesa yaayo, awatali ekyo, Ssitaani alumba omuntu okuva ku njuyi zonna, awatali ekyo, tuyinza tutya okumwekuuma?

N’olw’ekyo, tuteekwa okuwa Ekisiibo obwenkanya obukigwanira. Tuteekwa okulafuubana okwambala obutuukirivu, kubanga ky’ekiruubirirwa kyennyini eky’Okusiiba. Bwe tuba tusobola okwereekereza ebyakkikirizibwa, awo nno Katonda aggya kutugonnomolako ebyengera Bye. Era ne Ssitaani waffe lw’anaakaligibwa ku njegere. Tetuteekwa kugaya Ssitaani, kubanga yalayira dda okukukumba abantu abawerako ababuze okuva ku kkubo eggolokofu. N’olw’ekyo, tuteekwa okusitukiramu tuwakanye okusoomooza kuno, era tuwangule Ssitaani.

Okusigala nga twenyigira mu buli kika kya kusinza

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yanokolayo ebimu ku bigambo bya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’annyonnyola ekinyusi ky’Okusiiba Omwezi gwa Ramadhani, era nga kwe kukendeeza entanda omuntu gye yeetaaga okubeezaawo omubiri gwe asobole okwongera ku ntanda gye yeetaaga okubeezaawo omwoyo. Okusiiba tekitegeeza kubeera muyala, wabula kubeerawo lwa kutwongera kussa mulaka ku kusinza. Abo abasinza ku lwa Katonda, nga tebasinza ng’abakozi ba dduyiro nabo bateekwa okusigala nga bajjukira Allah basobole okufuna ekiruubirirwa ekituufu. Omutima bulijjo guteekwa okusigala nga gujjukira Allah.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, essaala ey’omugaso ennyo gye tuyinza okusomera mu Mwezi guno ogwa Ramadhani, y’eyo eyassibwa ku Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad (Emirembe gibeere ku ye) nti,

“Omutuukirivu Ye Allah agwana okutenderezebwa, Omutuukirivu ye Allah Omugulumivu. Ayi Allah, gonnomola emiksa ku Muhammad (Swallallaahu Alaihi Wasallama) n’abantu ba Muhammad.”

Gano ge makubo g’obutuukirivu agayinza okututuusa ku ntikko y’okwakunula Essaala

Obutuukirivu gwe mulandira gw’ebirungi byonna

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, Katonda yatulagira okwambala obutuukirivu mu bifo bingi ebya Kur’ani Entukuvu. Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) alina olunyiriri lw’ekitontome lwe yawandiika ate oluvannyuma ne Katonda n’alwongerezaako olunyiriri olulala ne gufuuka omugogo gw’ekitontome gumu nga Allah agamba nti:

“Ssinga omulandira guno gugundiira, n’ebirala byonna bigundiira.”

N’olw’ekyo, obutuukirivu bwe bukulembera ebirungi byonna era busaanyaawo endwadde zonna ez’ensi eno era ne bwanukula ebyetaago by’omubiri n’omwoyo.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) yalambulula omusomo gw’obutuukirivu enfunda eziwerako, era Ow’ekitiibwa yagamba nti, ayagala atulambululireyokko eby’okulabirako.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebigambo ebirala ebya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, entegeera y’obutuukirivu entuufu tesobola kutuukibwako awatali butuukirivu. Okuggyako ng’omutima gunaaziddwamu kazambi w’ensi eno, omuntu tasobola kufuna buwanguzi bwa mwoyo n’ebikolwa ebirungi. Obutuukirivu ky’ekisumuluzo ky’amagezi g’eddiini gonna. Amagezi gano tegasobola kutuukibwako awatali butuukirivu. Katonda agamba mu ntandikwa ya Kur’ani Entukuvu mu Ssuula Ey’okubiri nti, Kur’ani Entukuvu bwe bulung’amu eri abatuukirivu abatya Katonda. Abatuukirivu be baani? Katonda agenda mu maaso n’agamba nti, be bo abakkiriza ebitalabika, ne bayimirizaawo Esswalah, ne batoola ne mw’ebyo Allah bye yabawa ate era oluvannyuma ne bakkiririza ne mw’ebyo ebyabakkako. Gino gy’emitendera egisookerwako egy’omuntu omutuukirivu.

Obwetaavu bwa Kur’ani Entukuvu

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebigambo ebirala ebya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian – Omulung’amya Eyalagaanyizibwa (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, bino bwe biba nga by’ebintu ebyalambikibwa mu bitabo ebibereberye, kaakano bwetaavu ki obwa Kura’ni Entukuvu?

Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian – Omulung’amya Eyalagaanyizibwa (Emirembe gibeere ku ye) yaddamu ng’agamba nti, ebintu bino ebyogeddwako, by’ebisookerwako, ng’okukkiririza mu bitalabika. Naye, omuntu bw’aba ayagala okukulaakulana okuva ku ddaala ly’okukkiriza obukkiriza mu bitalabika, atuuke ku bukkiriza obw’enkomeredde, aba ateekwa okukolera ku nnono za Kur’ani Entukuvu. Abantu bwe batyo, baggya kukulaakulana okuva ku mutendera ogw’okukkiririza mu bitalabika, badde ku mutendera ogw’okujulira. Ky’ekimu mu nsi ya ssaayansi, bannassaayansi basooka kufumiitiriza nga tebamanyi oba nga ddala kye bakola kinaaba kituufu oba nedda. Naye, batandika okunoonyereza kwabwe nga basinziira ku kufumiitiriza okwo. Katonda agamba nti, omuntu ateekwa okukkiririza mu bitalabika mu ntandikwa olwo asobole okukolera ku njigiriza za Kur’ani Entukuvu, oluvannyuma basobole okulaba ebivaamu. Kino ky’ekinyusi ekituufu eky’okukkiririza mu bitalabika.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebimu ku bigambo bya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’annyonnyola kye kitegeeza okuyimirizaawo Esswalah. Omutindo ogusookera ddala, gwe gw’omuntu okusooka okusaala nga tamanyi lwaki asaala n’obutaganyulwa mu Sswalah era n’asigala ng’ebirowoozo bye biyinaayinira mu Sswalah era nga y’ensonga lwaki n’Esswalah ze tezaanukulwa n’afaananako n’omuntu agezaako mu bwangu okunoonya amazzi nga muyonta oba okunoonya emmere nga muyala. Okugeza, waaliyo omusajja alina ekintu ekyamubulako, naye mu kifo ky’okukinoonya, yagamba nti, kaasaale mu kifo ky’okukinoonya, naye olw’okubanga ebirowoozo bye byali biwankawankira mu Sswalah, yajjukira we kyali ng’asaala. Eno, teba Sswalah ntuufu, okuggyako okulyolyoma kwa Ssityaani. Esswalah entuufu y’eyo omuntu gy’ajjukiriramu Katonda okuva ku ntandikwa ppaka ku nkomerero, era n’atuuka ne ku ddaala nti, tewali busuubuzi bwa mugatte gwa nsimbi za Luppiya oguyinza okuwugula ebirowoozo bye okuva ku Sswalah. Mu ngeri eno, omuntu ayinza okukungula ebiruubirirwa by’ensi n’eby’omwoyo.

Ebika ebibiri eby’obutuukirivu n’okufuna ekisa kya Katonda

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayuyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yanokolayo ebigambo bya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian – Omulung’amya Eyalagaanyizibwa (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, waliyo ebika bibiri eby’obutuukirivu.

Ekisoooka, kyekuusa ku kumanya ate ekirala kyekuusa ku bikolwa. Nga bwe kyogeddwako mu lubereberye, omuntu tasobola kufuna kumanya okuggyako ng’afunye obutuukirivu. Era ebikolwa, ng’okusaala n’okusiiba n’ebirala, tebigasa okutuusa ng’omuntu ataddewo obutuukirivu. Kiteekwa n’okujjukirwa nti, Katonda atulagira obutamugattikako bakatonda balala.

Eky’okubiri, ye muntu okuweereza ebitonde Bye. Era Katonda ng’akubiriza abantu ku butuukirivu, agamba bw’ati mu Kur’ani Entukuvu nti:

  • “Kale bwe babanga banaatera okutuuka ku kiseera kyabwe eky’okudding’ana nabo. Kale mubasigazenga lwa bulungi, oba mwawukanenga nabo lwa bulungi. Naye mussangawo abajulizi babiri abenkanya okuva mu mmwe era muwanga obujulizi obwesimbu ku lwa Allah. Ebyo bibuuliriddwa oyo akkiriza Allah n’olunaku lw’enkomerero. Era oyo atya Allah, Allah amuteerawo obufulumiro.
  • Era amugabira okuva ne w’atasuubira. Era oyo eyeesiga Allah, kale Ye Allah amumala. Mazima Allah ajja kutuukiriza ensonga ye. Ddala buli kimu Allah yakissaako ekigero.”

(Kura’ni Entukuvu: Essuula ya 65:3-4 Ng’ogasseeko Basmalah)

N’olw’ekyo, omuntu omutuukirivu tabaako ne kye yeetaaga kyonna okuggyako Katonda. Katonda yabikkulira Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, “Bw’onofuuka munnange, buli kimu kinaafuuka kikyo.”

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’agamba nti, bannamukisa b’ebo abanaaganyulwa mu Mwezi guno ogwa Ramadhani nga tusitula omutindo gwa ffe ogw’obutuukirivu ku ddaala Katonda ly’ayagala.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, mu lunyiriri olw’okubiri olusomeddwa mu ntandikwa, Katonda alambika amateeka agasookerwako ag’Omwezi gwa Ramadhani. Era agamba nti, newakubaddenga okusiiba kwatukalaatirwa, Katonda yassaawo obutalizo, eky’okulabirako, eri abo abalwadde n’abali ku lugendo. Abantu ng’abo bwe bassuuka obulwadde oba ne bava mu lugendo, basobola okuliwa ennaku zaabwe oluvannyuma. Bateekwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe awatali kwetikka mugugu gwe batasaanye kwetikka. Bw’atyo Katonda bwe yakuuma obutonde bw’omuntu mu birowoozo era n’ateekawo obutalizo obw’enjawulo okusinziira ku mbeera ez’enjawulo omuntu z’ayitamu mu bulamu bwe. Waliyo abantu abawakanya eddiini nga bagamba nti, bannaddiini batikkiddwa omugugu gwe batasaanye kwetikka wamu n’okugaligibwa ebikoligo. Naye, olunyiriri luno lubawakanya, kubanga Katonda yassaawo obwangu ssinga wabaawo embeera y’obukaluubirivu, era nti, basobola okuliwa ennaku ezo mu nnaku endala ze babeera basazeewo mu mwaka. Kino kyennyini ky’ekikolebwa ne mu mbeera endala, okugeza nga bamaama abayonsa.

Ss’ekyo kyokka, wabula era waliwo n’ebeetu ery’okuwa engassi, ate n’eyo y’abo abalina obusobozi okukola bwe batyo. Kino ky’ekisa kya Katonda, era ow’ekikwa y’oyo ataganyulwa mu kisa kino.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’anokolayo ebigambo ebirala ebya Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’agamba nti, n’okwewala ebintu Katonda bye yatussizaamu ebbeetu, bubeera butuukirivu obw’engeri emu oba endala. Mu njogera endala, ssinga omuntu asigala ng’asiibye ate nga mulwadde oba ng’ali ku lugendo, olwo ekikolwa ekyo kibalibwa ng’ekikolwa ekibi. Obutuukirivu butukubiriza okussa ekitiibwa mu butalizo Katonda bwe yatuwa.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yannyonnyola ensonga eno n’agamba nti, ennaku zino, Basheikh b’Obusiraamu nga bakozesa emikutu emigatta bantu, batandise okuyisa ensala ez’obulimba era ezisesa ku miramwa egy’enjawulo. Naye, Katonda alambuludde bulungi nti, abo abagwa mu ttuluba eritaliziddwa, tebateekwa kusiiba. Omuntu tasobola kufuna bulokozi ku maanyi, wabula, asobola okulokolwa ng’ayita mu kussa amateeka ga Katonda mu nkola.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yasaba Allah Omugulumivu atusobozese okuyita obulungi mu Mwezi gwa Ramadhani ngabwe tunoonya okusiima Kwe n’okutambulira mu makubo g’Obutuukirivu. Tusaba Allah atusoboze okusitula omutindo gw’Obutuukirivu bwaffe. Era tumusaba atutaase ebyekwaso eby’obutasiiba n’okweteetikka ebizibu bye tutasaanye kwetikka. Era tumusaba atuyambe okutambuliranga ku nnono amakula ez’Obusiraamu. Era mu Mwezi guno ogwa Ramadhani, tusaba Allah atusoboze okukungula ebyengera ebitabalika, era tusuba buli lunaku lubeere lwa byengera n’emikisa. Tumusaba tuganyulirwe ddala mu Mwezi guno ogwa Ramadhani. Era tusaba omwezi guno ogwa Ramadhani gubeere entabiro y’okusembererwa kwa Katonda mu buli ngeri yonna esoboka. Era tumusaba atuwe obusobozi okujjumbira Esswalah ezikkirizibwa mu maaso ga Katonda.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, Abasiraamu Ab’Ahmadiyya okwetooloola ensi yonna, bateekwa okusigala nga basabira obuwanguzi bw’Ekibiina kyaffe kitangirwe ebizibu byonna. Era tusaba Allah atutaase ku gavumenti zonna n’ekkobaane lyonna ery’abatabuzitabuzi. Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) era yagenda mu maaso n’atukubiriza okusabirako abasibe abali mu makomera ku lw’enzikiriza yaabwe era nga n’abamu bayita mu mbeera enzibu ennyo.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagenda mu maaso n’asaba Allah atusobozese okwekwata ku gganduula Lye n’amaanyi, tutuuke ku ddaala nti, tewali kikolwa kyaffe kiyinza kulisirittusa mu ngalo zaffe era tusaba Allah ayongere okutufukumulako ebyengera Bye.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) era yakunga essaala eri amawanga g’Obusiraamu gonna era tumusaba agawe amagezi n’okutegeera era basobole n’okukkiriza Hadhrat Mirza Ghulam Ahmad ow’e Qadian (Emirembe gibeere ku ye) ng’Omulung’amya Eyalagaanyizibwa era Imam Mahdi.

Okwetangira ebivannyuma by’olutalo

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) era yakubiriza abantu okwetangira ebivannyuma by’olutalo. Ate entalo okulwanibwa mu mawanga g’Abasiraamu olw’okulwanira obuyinza, ekintu ekiviiriddeko abatuuze bonna okubanyaabonyezebwa ebibonyoobonyo. Era tusaba Allah abataase ababatalugunya abafaanana bwe batyo.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) era yagenda mu maaso n’asabira embeera y’ensi yonna nti, Allah atutaase olutalo n’ebibambulira byalwo. Ekituufu kiri nti, n’Abasiraamu Ab’Ahmadiyya baggya kukosebwa. Tusaba Allah abataase. Emu ku ngeri ey’okwetaasaamu kino, kwe kuba nti, buli Musiraamu Omw’Ahmadiyya asitula omutindo gw’obutuukirivu bwe. Tusaba Allah asobozese buli omu okukola bw’atyo.

Ow’ekitiibwa Khalifatul-Masih Ow’okutaano (Ayyadahullaahu Ta’ala Binasrihil-Aziiz) yagamba nti, mu ggwanga lya Bungereza, kirabika nti, waliwo enteekateeka ezigenda mu maaso nga zikolebwa okunyigiriza Abasiraamu. We twogerera, waliwo enkola empya mu kulwanyisa obutujju, naye abatunuulizi, okutwalira awamu bagamba nti, enkola eno yaluubiriddwamu kulondoola Basiraamu. Allah y’asinga okumanya ebiruubirirwa ebiri emabega wa kino, naye, tuteekwa okusaba Allah atutaase n’Abasiraamu abalala bonna ebikyamu ebiyinza okuva mu kino.

Allaahumma Amiina – Ayi Allah, tukusaba okkirize.

Leave a comment